Exodus 17

Amazzi Agaava mu Lwazi

1 aAwo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa. 2 bAbantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?”

3 cNaye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?”

4 dMusa n’akaabira Mukama nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.”

5 e Mukama n’addamu Musa nti, “Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; n’omuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ng’ogukutte mu mukono gwo, mutambule. 6 fNange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba. 7 gEkifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?”

Olutalo Abayisirayiri lwe Baasooka Okulwana

8 hAwo Abamaleki
Abamaleki baali bazzukulu ba mukoddomi wa Esawu, eyawasa muwala wa Esawu, era baanyaganga bunyazi batambuze mu ddungu.
ne bajja balwane ne Isirayiri mu Lefidimu.
9 jMusa n’agamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”

10 kYoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi. 11 lMusa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba. 12Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, n’atuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ng’ali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa. 13Yoswa n’awangula Abamaleki ng’akozesa obwogi bw’ekitala.

14 mAwo Mukama n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.”

15Musa n’azimbawo ekyoto n’akituuma erinnya Mukama ye Bendera Yange. 16N’agamba nti, “Kubanga Mukama alayidde okulwanyisa Abamaleki emirembe gyonna.”

Copyright information for LugEEEE